Ensi Lyrics by David Lutalo

Posted on November 05, 2019
By Dj Sadam
  • Share story:
4,332 Views

Lyrics

Oooh oh ooh 
Eeh ah my Uganda

Watandika ddi emize emikyamu?
Uganda apaana nedda!
Mukwano gwange gwe manyi obulungi 
Uganda nedda tatta
Ebyo byambe by’ani by’owagaza obusungu?
Akuwaga ani akulimba?
Gwe wakuza maama wange ne taata 
Ne ba jajja gwe eyaboola
Watwagala nnyo watulabirira 
Ng’okuba yenna atuŋŋoola
Yeggwe gwe tumanyi totwefuulira nno 
Tugambe kiki wanyiiga?
Oh bambi sorry
Suula ebyambe wansi obusungu bungi
Oba ssi gwe oli
Owange gwe manyi ono emitaafu mingi

Twatandika ddi okweteekera kamyu mu doodo?
Ensi yaffe ssi bwetyo
Mu mazima kuva ddi nga tusalagana nga nkoko?
Ensi yaffe ssi bwetyo
Ndowooza twesulika
UG bw’eti ssi bwe yali
Ensi yaffe ssi bwetyo
The Pearl of Africa
Kati ejjudde mpisa embi
Ensi yaffe ssi bwetyo

Kuva ddi nga tuli batemu?
Ki sitaani otulya ng’amapaapaali?
Kati tuttiŋŋana nga mbwa 
Oba Uganda yavaawo nga tuli wandi?
Eyatuloga simanyi ani!
Empisa okucuuma ng’ekyolooni
Gwe avaabira ekindaazi
Menyako akatono okaweeko oli
Wano akaaba tumusirisa 
Obutemu busigaze bali batelebaani, eh 
Y’asala munno obulago 
N’amala ne yeesiigako akazigo
Twetegera ki amalobo? Eeh 
Kuno bwe tutyo ssi bwe tweyisa 
Ebyo bintu by’eri bunaayira 
Tusonyiwagana ng’era ba kika
Tetuwambagana tutyo kijambula

Okumanya ekitugoba kitabuse 
N’abakazi baddukayo mu biyungu
Twewaze nnyo nnyo Mungu 
Ndowooza n’asitula obusungu
Twebunyizza ebiwundu
Ki twetemamu ebitundu?
Buli lwe wabaawo ekitabuse
Tewabula gwe twekwasa nti gundi
Naye tugambe ani ku luno?
Nga ffe tukubagana obukumbi
Oh oh oh my lovely Uganda
Guluma nga kati nkolooto
Oh oh fire twokya guno mugomyo
Buli omu funa ku tuzzi weeyiweko
Naaza enziro kyuusa enneeyisa yo
Oh oh mama nkolokooto
Oh oh fire twokya guno mugomyo
Buli omu funa ku tuzzi weeyiweko
Naaza enziro kyuusa enneeyisa yo

Double Kick 
Yaled 
Davi Lutalo

Ensi - David Lutalo (Download Mp3)

-->