Mu Lubiri Lyrics - John Blaq

Posted on June 17, 2020
By Sean Musa Carter
  • Share story:
5,491 Views

Lyrics

Download Mulubiri Audio by John Blaq:

Mulubiri - John Blaq

Read Mulubiri Lyrics by John Blaq Below:

Intro:

Gyal gyal
Gyal gyal
Mu Lubiri lwo
Mwe nsaba obutuuze
Aya baasi

Verse 1:

Tuula, ndowooza bye nkugamba hmmm
Era ndowooza, oba nkusoonseke akanamba
Naye ntiddemu, abakutuukako bangi bava mu mawanga
Kati nze Kasadha waabwe, baaba
Nnyabo bw’ompa omukisa
Ngya gukozesa ogwo omukisa
Mungu bwampa ekisima
Ngya kulaga laavu amazima
Nga ntegeeza, sigaana eih aah
Nze nviira Jinja
Nedda baaba, ssi Lweza
Naye nsaba butuuze

Chorus:

Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mwe nfunira emirembe
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Wano wano
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Nze mwe nsaba obutuuze

Verse 2:

Ngya kukuuma nga bambowa
Ngya kutambuza nga Kimbowa
Empisa embi mwattu zaabula
Ewange zaabula
Ye maama nyabula
Nze n’ompa olunaku ndukozesa
Ne bweriba dakiika ngikozesa
Yadde katikitiki nako ndikakozesa
Kannyiikire kusaba
Omutonzi awulira
Ndowooza luliba olwo luliba
Mu Lubiri lwo n’onnyaniriza

Chorus:

Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mwe nfunira emirembe
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Wano wano
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Nze mwe nsaba obutuuze

Verse 3:

Kikooyi, Gomesi byonna birabo byo
Kyonompa kyonompa ab’ewaka balabeko
Bwoba tolina tewali buzibu kasita nkulabako
Smile yo eyo kasita ngirabako
Birooto nfuna, birooto nfuna
Ne bw’ontuma okola nze mwattu bye nkola
Birooto ndaba, birooto ndaba
Nkuloota onneetegereza nga kati bw’okola
Oba bye ndoota by’ebituufu
Nkusaba obifuule ebituufu
Oba bye ndoota by’ebikyamu
Awo nandiba nga nze omukyamu

Chorus:

Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mwe nfunira emirembe
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Wano wano
Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Nze mwe nsaba obutuuze

Outro:

Mu Lubiri lwo mu Lubiri lwo wano
Mwe nfunira emirembe

END:

Watch the Video Below:

Tags

-->