Kasukaali Keeko? Lyrics by Bobi Wine

Posted on November 05, 2019
By Dj Sadam
  • Share story:
2,987 Views

Lyrics

Now this one is not going to play on your radio 
Or TV yo
But you go and share it and spread the vibe

Ky’ekyo
Speed y’eyo
Amaanyi geego
Ky’ekyo

Twabitandika mpola mu ntandikwa 
Ng’obulamu bwa mbirigo
Ye ng’oyogera otya nti nva mu Ghetto
Gwe n’oyitwa omuntu?
Kye twava twesowolayo ne tweyogerako 
Ng’obulumi bwa nsusso
Abantu baakubwa, baasibwa
N’abandi battibwa
Naye tetwapowa, twaguma 
Ne tuggusa ensonga 
Bwe njogera nti ono ayogera
Ndowooza kati ogirabye ensonga

Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Speed y’eyo?
Nze simanyi oba tugyongeremu? eeh
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Amaanyi geego?
Nze simanyi oba tugongeremu? eeh

Lwaki kale omukulu 
Talaba ebiri mu ggwanga okutucankalanya?
Lwaki kale omukulu 
Takola nga bano abaata entebe mu ddembe?
Nze ŋŋamba omukulu agenda 
Wadde nga yeekaza alimba
Oyo nze mumanyi entunula 
Omukulu atidde agenda 
Eyali yanzalawa wuuyo mpolampola ng’atandise okuyeba 
Ago ge maanyi g’abantu
Gwe ali eyo yongeza omuliro 
Olaba n’abaali tebakkiriza
Baamala nabo ne bakkiriza!
Kaakati ow’ekikoofiira 
Atya gwe ow’akakoofiira!

Endongo ngikubye ekimala 
Kaakati twogere ku nsonga 
Omubanda omulabye ekimala 
Kaakati kambawe Kyagulanyi
Abaana ba zi bodaboda speed eri etya? eeh
Abaana b’ewa Kisekka sukaali ali atya? eeh 
Aba zi University 
N’abaana ba Ghetto
Ab’e Kyaddondo
N’abomubyalo, eeh
Aboomu Diaspora munyweze ekintu, eeh
Abakyala kiri kitya? eeh 
Ka sukaali tukongeremu? eeh

Download the audio below:

Kasukali Keeko - Bobi Wine

-->