Tebigattika Lyrics by B2C

Posted on September 22, 2019
By Dj Sadam
  • Share story:
3,951 Views

Lyrics

Mr. Lee 
Hmmm yeah 
Hmmm 
Amatu mugangyazikeko eno ba ssebo 
Alina omukazi n’atalina 
Kuba ensimbi n’omukazi bintu bikulu 
Bye nzize n’ate okutangaaza 
Mmwe abawoza siringi bwe bulamu 
Netuusa okukujolonza ka nnyabo
Balala zibalesa bwana ku kyalo
N’adduka e Bulaaya ku kyeyo bambi 
Ate siringi bwekusanga bwekudibaga 
Togeza okugiraga akamiro oh
Ssi ka bugagga bijja kuntama 
Basajja bannange ssi baduulira
Ensimbi n’omukazi tebigattika 
Aah tebigattika 
Ssi ka bugagga bijja kuntama 
Basajja bannange ssi baduulira
Ensimbi n’omukazi tebigattika 
Aah tebigattika

Julio 
Hahaha 
Naye ate mwanawattu kambasese
Okumanya abakyala baamalayo, haha
Ogenda n’oyiiya opakase 
Osanyuse abato ne mukyala wo
Ne wewala ebigambo ebingi enkumu 
Okuuma ekitiibwa ne famire yo
Kituufu ebintu by’omukwano bikulu
Bw’ogattako siringi gaba makula 
Ndi bwa namunigina
Kaana ka mbaata 
Ntakula okulaba nga nzifuna maama
Ssi ka mukwano bijja kunnema 
Bataayi bange eyo ssi balojjera
Obwavu n’omukwano tebigattika 
Banywanyi tebigattika 
Ssi ka mukwano bijja kunnema 
Bataayi bange eyo ssi balojjera
Obwavu n’omukwano tebigattika 
Banywanyi tebigattika

Bobby Lash 
Ekigambo ekikulu kye tubasiibuza 
Okugonda mu mukwano kyatutonderwa 
Era buli lw’okaluba ofuuka kyetere
N’amasanyu g’ensi eno n’ogasiibula 
Ggwe naawe ali eyo n’omuntu wo
Ebintu by’ensi eno tebikuyinula 
Ku by’obugagga wano bye nzize ndaba 
Ekyenkana essanyu maka nze ssinakiraba
Kati ba ssebo ne ba nnyabo nsaba mbasiibule 
Buli afuluma n’omuntu we
Yeffe B2C abayimbi ba kuno 
Ssanyu Harriet, respect!

DOWNLOAD Tebigatika (MP3)

-->

Install Blizz Radio Android App


Google Play


About usContact usPrivacy • Copyright ©Blizz Uganda 2024

X