Masanda Lyrics - Maureen Nantume

Posted on February 20, 2020
By Sean Musa Carter
  • Share story:
3,365 Views

Lyrics

Download Masanda Audio by Maureen Nantume Below:

Masanda - Maureen Nantume

Read Masanda Lyrics Below:

Twakula tutyaba nku
Kuzanya kwiso na bando
Nga tulya ndiizi tulya vuuvu
Obuwoomi bwa kadoma bwe nina
Otutte munyuvu ssi kwewaana
Twakula tusiba minyige na mpombo
Tugende mboobeze nkuvumbikire
Ogenda kulya ne ku kawogo akookye
Iyii eeh hmmm, babe (era)
Nze manyi omugaso gw’enkumbi baby
Nze mmanyi omugaso gw’akawuuwo

Eyatuuzibwa omulabira ku ki?
Ku masanda
Ekiraga omukazi anaafumba
Gaba mabavu
Anaakuzimba omulabira ku ki?
Ku masanda
Alina byonna ebyo ebifumba
Yenze wano
Eyatuuzibwa omulabira ku ki?
Ku masanda
Ekiraga omukazi anaafumba
Gaba mabavu
Anaakuzimba omulabira ku ki?
Ku masanda
Alina byonna ebyo ebifumba
Yenze wano

Ffe twakulira wa ssenga
Nga tukima mazzi bwe tugayiwa mu nsuwa
Embuzi zo twazisibangayo ku ttale
Eziwalira ne tuzisikanga
Wuliriza bye nkugamba bino
Abo tebamanyi kufumbya nku
Tebamanyi kuzuuka nswa
Tebamanyi na kiwoomya matungulu
Nakulabanga kunnemerako
Kumbe engalo wazikeberako
Nga n’enkyaakya zannemerako
Waguma ne tuzikuutako dear

Eyatuuzibwa omulabira ku ki?
Ku masanda
Ekiraga omukazi anaafumba
Gaba mabavu
Anaakuzimba omulabira ku ki?
Ku masanda
Alina byonna ebyo ebifumba
Yenze wano

Omulungi wange k’otuuse
Ebinnuma ne binzoganya byonna bidduse
Ababadde bangyeya
Nti nga ndudde ku luggya mujje mundabe
Mbadde nsoma laavu
Course yange ng’ebadde mpanvu!
Nkuguse mu bya laavu
Manyi n’okuvuga eŋendo empanvu, eh
Ssiva ku mukutu
Ekiwoomya ettooke aba kabukulu
Ofunye muntu mukulu
Eyakulira mu maka ssi ku makubo
Era k’otutte nze
Ebirooto eby’entiisa bigenze
Omuntu mulamu nga nze
Tasangika, abasinga bapanga nga nseenene

Eyatuuzibwa omulabira ku ki?
Ku masanda
Ekiraga omukazi anaafumba
Gaba mabavu
Anaakuzimba omulabira ku ki?
Ku masanda
Alina byonna ebyo ebifumba
Yenze wano

Kakkana siri katula ka ku kkubo
Nti buli asanga y’anoga n’akombooza
Nze siri luseke lwa mu kirabo
Nti buli omu alunywerako
Ekitiibwa nga bwe nkyewa
Bwe ndikikuwa nkwagale nga ssikoowa, munnange
Era bw’oba eyo gy’oba
Papirizaako odde ewaka wo, tulyenga
Nze ssiri ng’akulunda
Naye bw’oba nga wooli mu nnyumba
Kale binnyuma

Ba njola (natuuzibwa)
Ne mpisa naziweza (natendekwa)
Munnange bantendeka (natuuzibwa)
Ge mabavu g’olaba (natendekwa)
Tolaba njala kusiiwuuka (natuuzibwa)
Watya lwa kuginyiga (natendekwa)
Abalala banyigira mu bukutiya (natuuzibwa)
Ssirikikola omuwala w’empisa (natendekwa)
Ndikugoyerayo ne ku mugoyo (natuuzibwa)
Ndikukamulira ne ku kabissi

END

-->