Osobola Lyrics by Bobi Wine & Nubian Li

Posted on Oct 05, 2019
By Dj Sadam
  • Like us on Facebook:
  •      
542 Views

Lyrics

All man 
Remember that everything you believe 
You can achieve man
Watch this! Eh

Mbalabye bangi mu bulamu abatoba 
Abamu ne baggwamu amaanyi ne bakita 
Naye leero kambagambe amazima 
Bw’olemerako munnange omalako
Kati twasalawo ffe kulumba nalo
Nga twesiga Mukama Katonda 
Kubanga ne Dawudi yanyiga Goliyaasi
Nga yesize Mukama Katonda

Wadde ng’embeera ekaaye osobola 
Nkusaba toggwamu ssuubi osobola 
Manya Mukama waali osobola 
Osobola embeera yonna 
Eeh wadde ng’entiisa nnyingi osobola 
Nga Mukama waali osobola 
Kale no toggwamu maanyi osobola 
Osobola mu mbeera yonna

Ggulawo amaaso otunule 
Kuba bw’ozibiriza ensi yo egenda 
Nsonga za ggwanga mujje 
Okumanya kwo kwe kuyamba abalala 
Ebikunyiga by’ebinnyiga tubikwase maanyi ebyo
Twebereremu tetupowa 
Tukyuse embeera eno
Naye nga osobola okukyusa embeera 
Wadde nga olowooza otuuse ku kisenge 
Osobola okulaba kw’ebyo bye waloota 
N’obituukako in your lifetime 
Kasita okola n’amaanyi n’olemerako 
Ebirala obikwase Katonda 
Jjukira abalemerako, be bamalako 
Enjogera eyo yaffe kuva dda

Kati ggwe abadde alowooza nti ebintu bya balonde 
Leka nkubuuse ate
Naawe abadde amanyi nti ebintu tebisoboka 
Example ye ffe
Kati no tebakutiisa
Tebakufiisa 
Tebakunyoomanga 
Naawe ebintu obiyinza 
Abali mu buyinza, tebakukanganga 
Wadde nga bajja na bitala bajja na lyanyi
Ffe tuzze na Mukama Katonda 
Kuba ne Dawudi eyakuba Goliyaasi 
Yakwata bukwasi jjinja 
Ffe twava mu Ghetto kulumba nalo
Nga twesize Mukama Katonda 
Kubanga ne Dawudi yakuba Goliyaasi 
Nga yesize Mukama Katonda

Remember, everything is possible 
If only you believe 
You can achieve 
Hahaha

Abo tebakulimba 
Abawoza tolumba 
Katonda talimba 
Manya ye Defender 
Abo tebakulimba 
Manya ba pretender 
Katonda talimba 
Manya ye Defender 
Abo tebakulimba 
Abawoza tolumba 
Katonda talimba 
Manya ye Defender

Ne Dawudi yanyiga Goliyaasi 
Nga yesize Mukama Katonda

Download Mp3 - Osobola

Make Your Business Known Click here to Add it freely to the largest Ugandan Business Directory

Tags


Related Stories

Loading...

NEWLY ADDED SONGS

Bilowoozo
Bilowoozo
Rhizo Pass ft Daddy Andre

25 plays | 21 Downloads

Every Ting
Every Ting
Giovanni Kiyingi

10 plays | 1 Downloads

Nkwesunga
Nkwesunga
Giovanni Kiyingi

17 plays | 6 Downloads

You're Not Alone
You're Not Alone
Giovanni Kiyingi

14 plays | 1 Downloads

Mu Bibatu Bye
Mu Bibatu Bye
Giovanni Kiyingi

14 plays | 1 Downloads

Obaddewo
Obaddewo
Giovanni Kiyingi

22 plays | 7 Downloads

VIEW ALL

About usAdvertise with usContact usJobsPrivacy • Copyright ©Blizz Uganda 2020

X